Olubereberye
45 Awo Yusufu yali takyayinza kwezibiikiriza mu maaso g’abaweereza be bonna.+ N’ayogerera waggulu nti: “Mufulumye abantu bonna bave we ndi!” Ne watasigala muntu n’omu nga Yusufu yeeyoleka eri baganda be.+
2 N’akaaba mu ddoboozi erya waggulu, Abamisiri ne bawulira era n’ab’ennyumba ya Falaawo ne bawulira. 3 Oluvannyuma Yusufu n’agamba baganda be nti: “Nze Yusufu. Kitange akyali mulamu?” Naye baganda be ne batamuddamu kintu kyonna kubanga baali bawuniikiridde. 4 Awo Yusufu n’agamba baganda be nti: “Mbeegayiridde musembere we ndi.” Ne bamusemberera.
N’agamba baganda be nti: “Nze Yusufu muganda wammwe gwe mwatunda e Misiri.+ 5 Naye kaakano temutya era buli omu aleme kunenya munne olw’okuba mwantunda eno; Katonda ye yansindika eno mbasookeyo okusobola okuwonyaawo obulamu bwammwe.+ 6 Guno gwe mwaka ogw’okubiri ogw’enjala mu nsi+ era wakyasigaddeyo emyaka emirala etaano gye batagenda kulimiramu wadde okukunguliramu. 7 Naye Katonda yansindika eno ku lwammwe, musobole okununulibwa mu ngeri ey’ekitalo era ebika byammwe bireme okuzikirira.*+ 8 Kale nno si mmwe mwansindika eno wabula Katonda ow’amazima, asobole okunfuula omuwabuzi* wa Falaawo omukulu, era omukulu w’ennyumba ye yonna era afuga ensi ya Misiri yonna.+
9 “Kale muddeeyo mangu eri kitange mumugambe nti, ‘Omwana wo Yusufu agambye bw’ati: “Katonda annonze okufuga ensi yonna eya Misiri.+ Jjangu gye ndi era tolwa.+ 10 Ojja kubeera mu kitundu ky’e Goseni+ okumpi nange—ggwe n’abaana bo, ne bazzukulu bo, n’ebisibo byo, n’amagana go, na buli kimu ky’olina. 11 Era nja kukuweeranga eyo emmere kubanga ekyasigaddeyo emyaka emirala etaano egy’enjala;+ oleme okwavuwala ggwe n’ennyumba yo, era ebintu by’olina bireme okusaanawo.”’ 12 Era kaakano mmwe mmwennyini ne muganda wange Benyamini mulaba n’amaaso gammwe nti nze njogera nammwe.+ 13 Kale mubuulire kitange ekitiibwa kyonna kye nnina mu Misiri ne byonna bye mulabye; era mwanguwe muleete kitange eno.”
14 Awo n’agwa muganda we Benyamini mu kifuba* n’akaaba, Benyamini naye n’akaaba ng’amuwambaatidde.+ 15 N’anywegera baganda be bonna era n’akaaba ng’abawambaatidde, oluvannyuma baganda be ne banyumya naye.
16 Amawulire ne gatuuka mu nnyumba ya Falaawo nti: “Baganda ba Yusufu bazze!” Ekyo ne kisanyusa nnyo Falaawo n’abaweereza be. 17 Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti: “Gamba baganda bo nti, ‘Mukole bwe muti: Mutikke ensolo zammwe mugende mu nsi ya Kanani 18 muggyeyo kitammwe n’ab’omu nnyumba zammwe mujje eno gye ndi. Nja kubawa ebintu ebirungi eby’omu nsi ya Misiri, era mujja kulya ebiva mu kitundu ky’ensi ekisinga obulungi.’*+ 19 Era bagambe nti: ‘Mukole bwe muti:+ Mutwale amagaali+ okuva mu nsi ya Misiri muteekemu abaana bammwe, bakazi bammwe, ne kitammwe mujje eno.+ 20 Era temweraliikirira bintu byammwe+ kubanga ebisingayo obulungi byonna eby’omu nsi ya Misiri yonna byammwe.’”
21 Awo batabani ba Isirayiri ne bakola bwe batyo. Yusufu n’abawa amagaali nga Falaawo bwe yalagira era n’abawa n’emmere ey’okulya mu kkubo. 22 Buli omu ku bo n’amuwa ekyambalo ekipya, naye Benyamini n’amuwa ebitundu bya ffeeza 300 n’ebyambalo ebipya bitaano.+ 23 N’aweereza kitaawe endogoyi kkumi nga zeetisse ebintu ebirungi eby’e Misiri, n’endogoyi enkazi kkumi nga zeetisse eŋŋaano,* emigaati, n’eby’okulya ebirala eby’okuliira mu kkubo. 24 Bw’atyo n’asiibula baganda be, era bwe baali bagenda n’abagamba nti: “Temuyombera mu kkubo.”+
25 Ne bava e Misiri, oluvannyuma ne batuuka eri Yakobo kitaabwe mu nsi ya Kanani, 26 ne bamugamba nti: “Yusufu akyali mulamu era y’afuga ensi yonna eya Misiri!”+ Naye ebigambo ne bimubula kubanga teyakkiriza kye baagamba.+ 27 Naye bwe beeyongera okumubuulira byonna Yusufu bye yabagamba era bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumutwala, n’addamu omwoyo. 28 Awo Isirayiri n’agamba nti: “Kimala! Omwana wange Yusufu akyali mulamu! Nteekwa okugenda mmulabeko nga sinnafa!”+