Nekkemiya
11 Abaami b’abantu baali babeera mu Yerusaalemi;+ naye abantu abalala bonna baakuba obululu+ okuleeta omuntu omu ku buli bantu kkumi okubeera mu Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu, ate abalala omwenda okubeera mu bibuga ebirala. 2 Era abantu baasiima nnyo abo bonna abeewaayo okubeera mu Yerusaalemi.
3 Bano be bakulu b’omu ssaza lya Yuda abaabeeranga mu Yerusaalemi. (Abayisirayiri abalala, bakabona, Abaleevi, abaweereza b’oku yeekaalu,*+ n’abaana b’abaweereza ba Sulemaani,+ baabeeranga mu bibuga bya Yuda ebirala, buli omu ku butaka bwe, mu kibuga kye.+
4 Era mu Yerusaalemi mwabeerangamu abamu ku bantu ba Yuda n’aba Benyamini.) Ku bantu ba Yuda mwabeerangamu Ataya mutabani wa Uzziya mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Amaliya mutabani wa Sefatiya mutabani wa Makalaleeri ow’oku baana ba Pereezi,+ 5 ne Maaseya mutabani wa Baluki mutabani wa Kolukoze mutabani wa Kazaya mutabani wa Adaya mutabani wa Yoyalibu mutabani wa Zekkaliya mutabani w’Omuseera. 6 Abaana ba Pereezi bonna abaali babeera mu Yerusaalemi baali 468, era baali basajja ba maanyi.
7 Bano be bantu ba Benyamini: Salu+ mutabani wa Mesulamu mutabani wa Yowedi mutabani wa Pedaya mutabani wa Kolaya mutabani wa Maaseya mutabani wa Isiyeri mutabani wa Yesukaya; 8 era waaliwo ne Gabbayi ne Salayi. Bonna awamu baali 928; 9 Yoweeri mutabani wa Zikuli ye yali abakulira, era Yuda mutabani wa Kassenuwa ye yali addirira akulira ekibuga.
10 Ku bakabona waaliwo bano: Yedaya mutabani wa Yoyalibu, Yakini,+ 11 Seraya mutabani wa Kirukiya mutabani wa Mesulamu mutabani wa Zadooki mutabani wa Merayosi mutabani wa Akitubu,+ omukulu w’ennyumba* ya Katonda ow’amazima, 12 ne baganda baabwe abaakolanga omulimu gw’oku nnyumba. Bonna awamu baali 822; ne Adaya mutabani wa Yerokamu mutabani wa Peraliya mutabani wa Amuzi mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Pasukuli+ mutabani wa Malukiya, 13 ne baganda be, abakulu b’ennyumba za bakitaabwe. Bonna awamu baali 242; ne Amasusaayi mutabani wa Azaleri mutabani wa Azayi mutabani wa Mesiremoosi mutabani wa Immeri, 14 ne baganda be, abasajja abaali ab’amaanyi era abazira. Bonna awamu baali 128; Zabudyeri ow’omu luggya olumanyifu ye yali abakulira.
15 Ku Baleevi waaliwo bano: Semaaya+ mutabani wa Kassubu mutabani wa Azulikamu mutabani wa Kasukabiya mutabani wa Bunni, 16 ne Sabbesayi+ ne Yozabadi,+ abamu ku baali bakulira Abaleevi, abaalabiriranga emirimu egy’ebweru egy’ennyumba ya Katonda ow’amazima; 17 ne Mattaniya+ mutabani wa Mikka mutabani wa Zabudi mutabani wa Asafu,+ omukubiriza w’okuyimba, eyakulemberangamu ennyimba ez’okutendereza mu kiseera eky’okusaba;+ Bakubukiya ye yali amuddirira mu baganda be; ne Abuda mutabani wa Sammuwa mutabani wa Galali mutabani wa Yedusuni.+ 18 Abaleevi bonna abaali mu kibuga ekitukuvu baali 284.
19 Abaali abakuumi b’oku miryango be bano: Akkubu ne Talumoni+ ne baganda baabwe abaali bakuuma ku miryango; bonna awamu baali 172.
20 Abayisirayiri abalala bonna ne bakabona n’Abaleevi baali mu bibuga ebirala byonna ebya Yuda, buli omu mu busika bwe. 21 Abaweereza b’oku yeekaalu*+ baali babeera mu Oferi,+ era Zika ne Gisupa be baali bakulira abaweereza b’oku yeekaalu.*
22 Uzzi mutabani wa Bani mutabani wa Kasukabiya mutabani wa Mattaniya+ mutabani wa Mikka ow’oku baana ba Asafu, abayimbi, ye yakuliranga Abaleevi mu Yerusaalemi; ye yali akulira omulimu gw’ennyumba ya Katonda ow’amazima. 23 Waaliwo ekiragiro kya kabaka ku lw’abayimbi,+ era n’enteekateeka abayimbi okuweebwanga ebintu buli lunaku okusinziira ku bwetaavu bwabwe. 24 Pesakiya mutabani wa Mesezaberi ow’oku baana ba Zeera mutabani wa Yuda ye yawanga kabaka amagezi* ku nsonga zonna ezikwata ku bantu.
25 Abamu ku bantu ba Yuda baagenda ne babeera mu Kiriyasu-aluba+ ne mu Diboni ne mu Yekabuzeeri.+ Baabeera ne mu bubuga era ne mu byalo ebyali biriraanye ebibuga ebyo. 26 Baabeera ne mu Yesuwa ne mu Molada+ ne mu Besu-pereti+ 27 ne mu Kazali-suwali+ ne mu Beeru-seba n’obubuga obukyetoolodde, 28 ne mu Zikulagi+ ne mu Mekona n’obubuga obukyetoolodde, 29 ne mu Eni-limmoni+ ne mu Zola+ ne mu Yalamusi 30 ne mu Zanowa+ ne mu Adulamu n’ebyalo ebibyetoolodde, ne mu Lakisi+ n’ebyalo ebikiriraanye, ne mu Azeka+ n’obubuga obukyetoolodde. Baali babeera* okuva e Beeru-seba okutuukira ddala mu Kiwonvu kya Kinomu.+
31 Abantu ba Benyamini baali babeera mu Geba,+ mu Mikumasi, mu Ayiya, mu Beseri+ n’obubuga obukyetoolodde, 32 mu Anasosi,+ mu Nobu,+ mu Ananiya, 33 mu Kazoli, mu Laama,+ mu Gittayimu, 34 mu Kadidi, mu Zeboyimu, mu Nebalati, 35 mu Loodi, mu Ono,+ ne mu kiwonvu ky’abakozi b’emirimu gy’emikono. 36 Ebimu ku bibinja by’Abaleevi ebyali bibeera mu Yuda byasenzebwa mu Benyamini.