Nekkemiya
12 Bano be bakabona n’Abaleevi abaava mu buwaŋŋanguse ne Zerubbaberi+ mutabani wa Seyalutyeri+ ne Yesuwa:+ Seraya, Yeremiya, Ezera, 2 Amaliya, Maluki, Kattusi, 3 Sekaniya, Lekumu, Meremoosi, 4 Iddo, Ginnesoyi, Abiya, 5 Miyamini, Maadiya, Biruga, 6 Semaaya, Yoyalibu, Yedaya, 7 Salu, Amoki, Kirukiya, ne Yedaya. Abo be baali abakulu ba bakabona ne baganda baabwe mu kiseera kya Yesuwa.
8 Abaleevi be bano: Yesuwa, Binnuyi, Kadumyeri,+ Serebiya, Yuda, ne Mattaniya+ eyali akulembera mu kuyimba ennyimba ez’okwebaza awamu ne baganda be. 9 Ate baganda baabwe, Bakubukiya ne Unni, bo baabanga ku luuyi lulala nga bakola omulimu gw’obukuumi. 10 Yesuwa yazaala Yoyakimu, Yoyakimu n’azaala Eriyasibu, Eriyasibu+ n’azaala Yoyada.+ 11 Yoyada yazaala Yonasaani, Yonasaani n’azaala Yadduwa.
12 Mu kiseera kya Yoyakimu bano be baali bakabona abaali bakulira ennyumba za bakitaabwe: Owa Seraya,+ Meraya; owa Yeremiya, Kananiya; 13 owa Ezera,+ Mesulamu; owa Amaliya, Yekokanani; 14 owa Maluki, Yonasaani; owa Sebaniya, Yusufu; 15 owa Kalimu,+ Aduna; owa Merayosi, Kerukayi; 16 owa Iddo, Zekkaliya; owa Ginnesoni, Mesulamu; 17 owa Abiya,+ Zikuli; owa Miniyamini, . . . ;* owa Mowadiya, Pirutayi; 18 owa Biruga,+ Sammuwa; owa Semaaya, Yekonasaani; 19 owa Yoyalibu, Mattenayi, owa Yedaya,+ Uzzi; 20 owa Salayi, Kalayi; owa Amoki, Eberi; 21 owa Kirukiya, Kasukabiya; owa Yedaya, Nesaneeri.
22 Mu kiseera kya Eriyasibu, Yoyada, Yokanani, ne Yadduwa,+ abakulu b’ennyumba za bakitaabwe b’Abaleevi baawandiikibwa, era ne bakabona nabo baawandiikibwa, okutuukira ddala mu kiseera ky’obufuzi bwa Daliyo Omuperusi.
23 Abaleevi abaali abakulu b’ennyumba za bakitaabwe baawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo, okutuukira ddala mu kiseera kya Yokanani mutabani wa Eriyasibu. 24 Abakulu b’Abaleevi be bano: Kasukabiya, Serebiya, ne Yesuwa+ mutabani wa Kadumyeri,+ era baganda baabwe baayimiriranga ku luuyi olulala okuyimba ennyimba ez’okutendereza n’okwebaza ng’ekiragiro kya Dawudi+ omusajja wa Katonda bwe kyali, era buli kibinja ky’abakuumi kyabanga kiriraanye kinnaakyo. 25 Mattaniya,+ Bakubukiya, Obadiya, Mesulamu, Talumoni, ne Akkubu+ baali bakuumi b’oku miryango+ abaakuumanga amaterekero g’oku miryango. 26 Abo baaweereza mu kiseera kya Yoyakimu mutabani wa Yesuwa+ mutabani wa Yozadaki ne mu kiseera kya Nekkemiya gavana ne Ezera+ kabona era omukoppolozi.*
27 Bbugwe wa Yerusaalemi bwe yali agenda okutongozebwa, baanoonya Abaleevi mu bitundu byonna gye baali babeera ne babaleeta e Yerusaalemi batongoze bbugwe nga bajaganya, nga bayimba ennyimba ez’okwebaza,+ era nga bakuba ebitaasa n’ebivuga eby’enkoba n’entongooli. 28 Abaana b’abayimbi* baakuŋŋaana okuva mu kitundu ekiriraanyeewo,* n’okuva mu Yerusaalemi, ne mu byalo by’Abanetofa,+ 29 ne mu Besu-girugaali,+ ne mu bitundu by’e Geba+ n’e Azumavesi,+ kubanga abayimbi baali beezimbidde ebyalo okwetooloola Yerusaalemi. 30 Bakabona n’Abaleevi beetukuza ne batukuza n’abantu+ n’emiryango+ ne bbugwe.+
31 Awo ne ndeeta abaami ba Yuda waggulu ku bbugwe. Ne nteekawo ebibinja ebinene bibiri eby’abayimbi abayimba ennyimba ez’okwebaza n’ebibiina by’abantu ab’okubagoberera; ekimu kyali kitambula kidda ku mukono ogwa ddyo ku bbugwe okwolekera Omulyango gw’Entuumu z’Evvu.+ 32 Kosaaya n’ekimu kya kubiri eky’abaami ba Yuda ne batambula nga babagoberera, 33 awamu ne Azaliya ne Ezera ne Mesulamu 34 ne Yuda ne Benyamini ne Semaaya ne Yeremiya. 35 Baali wamu n’abamu ku baana ba bakabona bano abaali bakutte amakondeere:+ Zekkaliya mutabani wa Yonasaani mutabani wa Semaaya mutabani wa Mattaniya mutabani wa Mikaaya mutabani wa Zakkuli mutabani wa Asafu,+ 36 era ne baganda be Semaaya ne Azaleri ne Miralayi ne Giralayi ne Maayi ne Nesaneeri ne Yuda ne Kanani nga bakutte ebivuga bya Dawudi+ omusajja wa Katonda ow’amazima, era nga Ezera+ omukoppolozi* abakulembeddemu. 37 Baayita ku Mulyango gw’Oluzzi+ ne bagenda butereevu, ne bayita ku Madaala+ g’Ekibuga kya Dawudi+ bbugwe w’ayambukira eky’engulu w’Ennyumba ya Dawudi, ne batuukira ddala ku Mulyango gw’Amazzi+ ebuvanjuba.
38 Ekibinja ekirala eky’abayimbi abaali bayimba ennyimba ez’okwebaza kyatambula kidda ku luuyi lulala,* era nnali nkigoberera nga ndi wamu ne kimu kya kubiri eky’abantu. Kyayita ku bbugwe waggulu w’Omunaala gw’Obubiga+ ne kyeyongerayo ne kituuka ku Bbugwe Omugazi,+ 39 era ne kiyita waggulu ku Mulyango gwa Efulayimu+ ne ku Mulyango gw’Ekibuga Ekikadde+ ne ku Mulyango gw’Ebyennyanja+ ne ku Munaala gwa Kananeri+ ne ku Munaala gwa Meya ne kyeyongerayo okutuuka ku Mulyango gw’Endiga;+ awo ne kiyimirira ku Mulyango gw’Abakuumi.
40 Awo ebibinja byombi eby’abo abaali bayimba ennyimba ez’okwebaza ne biyimirira mu maaso g’ennyumba ya Katonda ow’amazima era nange bwe ntyo awamu ne kimu kya kubiri eky’abaami abaali nange, 41 ne bakabona bano: Eriyakimu, Maaseya, Miniyamini, Mikaaya, Eriwenayi, Zekkaliya, ne Kananiya, nga bakutte amakondeere, 42 ne Maaseya ne Semaaya ne Eriyazaali ne Uzzi ne Yekokanani ne Malukiya ne Eramu ne Ezeri. Abayimbi baayimba mu ddoboozi ery’omwanguka, era baali bakulirwa Izulakiya.
43 Ku lunaku olwo baawaayo ssaddaaka nnyingi nnyo era ne bajaganya,+ kubanga Katonda ow’amazima yali abaleetedde essanyu lingi nnyo. Abakazi n’abaana nabo baajaganya,+ era okujaganya kwa Yerusaalemi ne kuwulirwa wala nnyo.+
44 Ate era ku lunaku olwo baalonda abantu abaali ab’okulabirira amaterekero+ g’ebyo ebiba biweereddwayo,+ n’ag’ebibala ebibereberye,+ n’ag’ekimu eky’ekkumi.+ Baali ba kugakuŋŋaanyizangamu ebintu ebivudde mu nnimiro z’omu bibuga, ebyalagirwa mu Mateeka+ okuba ebya bakabona n’Abaleevi;+ abantu ba Yuda baali basanyufu olw’okuba bakabona n’Abaleevi baali baweereza. 45 Awo bakabona n’Abaleevi ne batandika okukola omulimu gwa Katonda waabwe era n’ogw’okutukuza. Abayimbi n’abakuumi nabo ne bakola omulimu gwabwe nga bagoberera ebiragiro bya Dawudi ne mutabani we Sulemaani. 46 Kubanga edda mu kiseera kya Dawudi ne Asafu waalingawo abakulira abayimbi* era waalingawo n’ennyimba ez’okutendereza n’okwebaza Katonda.+ 47 Abayisirayiri bonna mu kiseera kya Zerubbaberi+ ne mu kiseera kya Nekkemiya baawangayo emigabo gy’abayimbi+ n’abakuumi b’oku miryango+ ng’obwetaavu obwa buli lunaku bwe bwabanga. Era baawanga Abaleevi emigabo gyabwe,+ Abaleevi nabo ne batoola ku migabo egyo ne bawa bazzukulu ba Alooni.