Yobu
17 “Amaanyi gampedde, ennaku zange ziweddeyo;
Entaana y’ennindiridde.+
2 Abakudaazi banneetoolodde,+
Era amaaso gange galaba ebikolwa byabwe eby’obujeemu.
3 Nkusaba okkirize kye nkusingira, era okikuume.
Omulala anankwata mu ngalo n’anneeyimirira y’ani?+
4 Kubanga emitima gyabwe ogikisizza okutegeera;+
Eyo ye nsonga lwaki tobagulumiza.
5 Ebintu bye asobola okubigabirako mikwano gye,
Ng’ate amaaso g’abaana be gayimbaala olw’enjala.
7 Ennaku ereetedde amaaso gange okuyimbaala,+
Era nzenna nkozze.
8 Abantu abatuukirivu bandaba ne beewuunya,
N’ataliiko musango anakuwala olw’oyo atatya Katonda.*
10 Kale mmwenna mukomeewo muddemu bye mubadde mwogera,
Kubanga mu mmwe sirabyemu muntu wa magezi.+
12 Ekiro bakiyita misana,
Nga bagamba nti, ‘Bunaatera okutangaala kubanga obudde buzibye.’
14 Entaana*+ nja kugigamba nti, ‘Ggwe kitange!’
N’envunyu ngigambe nti, Ggwe mmange era mwannyinaze!’
15 Kale essuubi lyange liri ludda wa?+
Waliwo omuntu yenna ayinza okugamba nti nnina essuubi?