Koseya
3 Kyokka nze nnayigiriza Efulayimu okutambula,+ nnabasitulanga mu mikono gyange;+
Naye tebaakikkiriza nti nze nnali mbawonyezza.
4 Nnabasika n’emiguwa egy’abantu* era n’obuguwa obw’okwagala;+
Gye bali nnali ng’oyo aggya ekikoligo ku mba zaabwe,
Era buli omu nnamuleetera emmere.
5 Tebaliddayo mu nsi ya Misiri, naye Bwasuli y’aliba kabaka waabwe,+
Kubanga baagaana okudda gye ndi.+
6 Ekitala kiryetooloolera mu bibuga bye+
Ne kisaanyaawo ebisiba eby’enzigi ze, era ne kibazikiriza olw’enteekateeka zaabwe.+
7 Abantu bange bamaliridde obutaba beesigwa gye ndi.+
Baabayita okudda eri oyo ali waggulu naye tewali asituka.
8 Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu?+
Nnyinza ntya okukuwaayo eri abalabe bo ggwe Isirayiri?
Nnyinza ntya okukuyisa nga Aduma?
Nnyinza ntya okukufuula nga Zeboyimu?+
9 Siryoleka busungu bwange obubuubuuka.
Siriddamu kuzikiriza Efulayimu,+
Kubanga nze siri muntu ndi Katonda,
Omutukuvu ali wakati mu mmwe;
Sirijja gy’oli nga ndiko ekiruyi.
10 Baligoberera Yakuwa, era aliwuluguma ng’empologoma;+
Bw’aliwuluguma, abaana be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.+
11 Balikankana ng’ekinyonyi nga bava e Misiri,
Era ng’ejjiba nga bava mu nsi ya Bwasuli;+
Ndibazzaayo mu nnyumba zaabwe,” Yakuwa bw’agamba.+
12 “Efulayimu anneetoolozza obulimba,
Era ennyumba ya Isirayiri enneetoolozza obukuusa.+
Naye ye Yuda akyatambula ne Katonda,
Era mwesigwa eri Oyo Asingiridde Obutukuvu.”+