Yoswa
17 Awo akalulu+ ne kagwa ku kika kya Manase,+ kubanga ye yali mutabani wa Yusufu omubereberye;+ Makiri+ mutabani wa Manase omubereberye, kitaawe wa Gireyaadi, yaweebwa Gireyaadi ne Basani+ olw’okuba yali mulwanyi muzira. 2 Ate era akalulu ne kagwa ku bazzukulu ba Manase abalala ng’empya zaabwe bwe zaali, ku baana ba Abi-yezeri,+ abaana ba Kereki, abaana ba Asuliyeri, abaana ba Sekemu, abaana ba Keferi, n’abaana ba Semida. Abo be bazzukulu ba Manase mutabani wa Yusufu ab’obulenzi, ng’empya zaabwe bwe zaali.+ 3 Naye Zerofekaadi+ mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, teyalina baana ba bulenzi wabula ba buwala bokka, era gano ge mannya gaabwe: Makula, Nuuwa, Kogula, Mirika ne Tiruza. 4 Awo abawala abo ne bagenda eri Eriyazaali+ kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni n’abaami, ne bagamba nti: “Yakuwa ye yalagira Musa okutuwa obusika mu baganda baffe.”+ Awo ne baweebwa obusika mu baganda ba kitaabwe nga Yakuwa bwe yalagira.+
5 Waaliwo ebitundu ebirala kkumi ebyaweebwa Manase ng’oggyeeko Gireyaadi ne Basani, ebyali emitala wa Yoludaani,*+ 6 kubanga abaana ba Manase ab’obuwala baaweebwa obusika mu baana be ab’obulenzi, era ensi ya Gireyaadi yafuuka ya bazzukulu ba Manase abalala.
7 Ensalo ya Manase yava ku nsalo ya Aseri n’etuuka e Mikumesasi,+ ekiri mu maaso ga Sekemu,+ ne yeeyongerayo ebukiikaddyo n’etuuka ku nsi y’abantu b’e Eni-Tappuwa. 8 Ekitundu kya Tappuwa+ kyafuuka kya Manase, naye ekibuga Tappuwa ekyali ku nsalo ya Manase kyali kya bazzukulu ba Efulayimu. 9 Ensalo yaserengeta n’etuuka mu Kiwonvu* kya Kana, mu bukiikaddyo bw’ekiwonvu ekyo. Mu bibuga bya Manase+ mwalimu ebibuga bya Efulayimu, era ensalo ya Manase yali bukiikakkono wa kiwonvu, era yali ekoma ku nnyanja.+ 10 Ekitundu eky’ebukiikaddyo kyali kya Efulayimu ate eky’ebukiikakkono kyali kya Manase, era ennyanja ye yali ensalo ye;+ ku luuyi olw’ebukiikakkono, ensalo ya Manase yali etuuka ku nsalo ya Aseri, ate ku luuyi olw’ebuvanjuba yali etuuka ku nsalo ya Isakaali.
11 Ebibuga bino ebyali mu kitundu kya Isakaali n’ekya Aseri byaweebwa Manase nga mw’otwalidde n’abantu baamu n’obubuga bwabyo: Besuseyani, Ibuleyamu,+ Doli,+ Eni-doli,+ Taanaki,+ ne Megiddo. Ebitundu eby’ensozi ebisatu byali bibye.
12 Naye abaana ba Manase tebaasobola kuwamba bibuga ebyo; Abakanani baalemera mu kitundu ekyo.+ 13 Abayisirayiri bwe beeyongera okuba ab’amaanyi, baatandika okukozesa Abakanani emirimu egy’obuddu,+ naye tebaabagobera ddala mu nsi.+
14 Awo bazzukulu ba Yusufu ne bagamba Yoswa nti: “Lwaki otuwadde* ekitundu kimu kyokka?+ Tuli bangi nnyo olw’okuba Yakuwa atuwadde omukisa okutuusa leero.”+ 15 Yoswa n’abaddamu nti: “Bwe muba nga muli bangi nnyo, mugende musaawe ekibira mwefunire ekifo mu nsi y’Abaperizi+ n’Abaleefa,+ okuva bwe kiri nti ekitundu kya Efulayimu+ eky’ensozi tekibamala.” 16 Awo bazzukulu ba Yusufu ne bagamba nti: “Ekitundu eky’ensozi tekitumala, era Abakanani bonna abali mu kitundu eky’ekiwonvu balina amagaali ag’olutalo+ agaliko ebyuma ebisala,* abo abali mu Besu-seyani+ n’obubuga obukyetoolodde, n’abo abali mu Kiwonvu ky’e Yezuleeri.”+ 17 Yoswa n’agamba ab’ennyumba ya Yusufu, kwe kugamba, Efulayimu ne Manase nti: “Muli bangi nnyo era muli ba maanyi nnyo. Temujja kufuna kitundu kimu kyokka,+ 18 naye n’ekitundu eky’ensozi kijja kuba kyammwe.+ Newakubadde nga kibira, mujja kukisaawa era eyo ensalo yammwe gy’eneekoma. Mujja kugobamu Abakanani wadde nga ba maanyi era nga balina amagaali ag’olutalo agaliko ebyuma ebisala.”*+