Ekyabalamuzi
21 Abasajja ba Isirayiri baali balayiridde e Mizupa+ nga bagamba nti: “Tewabanga n’omu ku ffe awaayo muwala we eri Omubenyamini okumuwasa.”+ 2 Awo abantu ne bagenda e Beseri+ ne batuula eyo mu maaso ga Katonda ow’amazima okutuusa akawungeezi, nga batema emiranga era nga bakaaba nnyo. 3 Ne bagamba nti: “Ai Yakuwa Katonda wa Isirayiri, lwaki kino kibaddewo mu Isirayiri, ekika ekimu okubulawo mu Isirayiri leero?” 4 Ku lunaku olwaddako abantu ne bakeera ku makya ne bazimba eyo ekyoto ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emirembe.+
5 Awo abantu ba Isirayiri ne bagamba nti: “Ani mu bika bya Isirayiri byonna ataagenda kukuŋŋaana mu maaso ga Yakuwa?” Kubanga baali balayidde nti omuntu yenna ataagenda mu maaso ga Yakuwa e Mizupa yalina okuttibwa. 6 Abantu ba Isirayiri ne banakuwala olw’ekyo ekyatuuka ku muganda waabwe Benyamini. Ne bagamba nti: “Olwa leero ekika ekimu kisaliddwa ku Isirayiri. 7 Tukole ki okufunira abasigaddewo abakazi, okuva bwe kiri nti twalayira mu maaso ga Yakuwa+ obutabawa n’omu ku bawala baffe kumuwasa?”+
8 Awo ne babuuza nti: “Kika ki mu bika bya Isirayiri ekitaagenda mu maaso ga Yakuwa e Mizupa?”+ Era laba! mu Yabesi-gireyaadi tewaali n’omu yali avuddeyo kugenda mu lusiisira awaali ekibiina. 9 Abantu bwe baabalibwa, ne bakizuula nti tewaali n’omu ku batuuze b’e Yabesi-gireyaadi yaliyo. 10 Awo ekibiina ne kitumayo abasajja 12,000 ku abo abaali basingayo okuba abazira. Ne babagamba nti: “Mugende mutte abatuuze b’e Yabesi-gireyaadi n’ekitala, era temutaliza bakazi na baana.+ 11 Era kino kye muba mukola: Buli musajja na buli mukazi eyali yeebaseeko n’omusajja mumuzikirize.” 12 Mu batuuze b’e Yabesi-gireyaadi baasangamu abawala 400 embeerera, abaali bateebakangako na musajja. Awo ne babaleeta mu lusiisira e Siiro+ ekiri mu nsi ya Kanani.
13 Awo ekibiina kyonna ne kiweereza Ababenyamini abaali ku lwazi lwa Limmoni+ obubaka obulaga nti emirembe gizzeewo. 14 Awo Ababenyamini ne bakomawo. Ne babawa abakazi be baali baleseewo nga balamu ku bakazi b’e Yabesi-gireyaadi,+ naye be baabafunira tebaabamala. 15 Abayisirayiri ne banakuwala olw’ekyo ekyali kituuse ku Benyamini,+ kubanga Yakuwa yali amwawudde ku bika bya Isirayiri ebirala. 16 Abakadde b’ekibiina ne bagamba nti: “Tukole ki okufunira abasajja abasigaddewo abakazi, okuva bwe kiri nti abakazi bonna baazikirizibwa mu Benyamini?” 17 Ne bagamba nti: “Ababenyamini abawonyeewo balina okubeera n’obusika, ekika kireme kusaanawo mu Isirayiri. 18 Naye ffe tetukkirizibwa kubawa bawala baffe kubawasa, kubanga abantu ba Isirayiri baalayira nti, ‘Omuntu yenna awa Benyamini omukazi akolimirwe.’”+
19 Awo ne bagamba nti: “Buli mwaka wabaawo embaga ya Yakuwa e Siiro+ ekiri ebukiikakkono wa Beseri, ebuvanjuba w’oluguudo oluva e Beseri okugenda e Sekemu, era ekiri ebukiikaddyo wa Lebona.” 20 Awo ne balagira abasajja ba Benyamini nti: “Mugende mu nnimiro z’emizabbibu muteege. 21 Bwe munaalaba abawala b’e Siiro nga bazze okuzina, buli omu ku mmwe ajja kuvaayo mu nnimiro z’emizabbibu yeefunire omukazi mu bawala b’e Siiro amutwale lwa mpaka, muddeyo mu kitundu kya Benyamini. 22 Bakitaabwe oba bannyinaabwe bwe balijja okutwemulugunyiza, tulibagamba nti, ‘Mutukwatirwe ekisa ku lwabwe, kubanga tetwasobola kufunira buli omu mukazi mu lutalo,+ ate nga nammwe mwali temusobola kubawa bakazi ne mutabaako musango.’”+
23 Awo abasajja ba Benyamini ne bakola bwe batyo, buli omu ku bo ne yeefunira omukazi mu bawala abaali bazina. Oluvannyuma baddayo mu busika bwabwe ne baddamu okuzimba ebibuga byabwe+ ne babibeeramu.
24 Awo Abayisirayiri ne bavaayo, buli omu n’agenda eri ekika kye n’eri amaka ge; baavaayo buli omu n’agenda mu busika bwe.
25 Mu nnaku ezo tewaaliwo kabaka mu Isirayiri.+ Buli muntu yakolanga ekyo kye yalabanga nga kye kituufu mu maaso ge.*