-
Ekyamateeka 2:19Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
19 Bw’onoosembera okumpi n’Abaamoni, tobatawaanya era tobasosonkereza, kubanga sijja kukuwa kitundu na kimu ku nsi y’Abaamoni okuba omugabo gwo, kubanga nnagiwa bazzukulu ba Lutti okuba omugabo gwabwe.+
-
-
Ekyabalamuzi 11:4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Bwe waayitawo ekiseera, Abaamoni ne balwanyisa Isirayiri.+
-
-
Zeffaniya 2:9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 N’olwekyo, nga bwe ndi omulamu,” Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba,
“Mowaabu erifuuka nga Sodomu,+
N’Abaamoni balifuuka nga Ggomola,+
Ekifo ekyameramu omwennyango, ekinnya eky’omunnyo, era amatongo ag’olubeerera.+
Abantu bange abalisigalawo balibinyaga,
Abalisigalawo ku ggwanga lyange balibitwala.
-