-
Olubereberye 12:11-13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Bwe yali anaatera okutuuka e Misiri, Ibulaamu n’agamba mukazi we Salaayi nti: “Nkwegayiridde mpuliriza! Nkimanyi nti oli mukazi alabika obulungi ennyo.+ 12 Abamisiri bwe banaakulaba bajja kugamba nti, ‘Ono mukazi we.’ Olwo nze banzite, naye ggwe bakuleke. 13 Nkwegayiridde, gamba nti oli mwannyinaze ebintu biŋŋendere bulungi ku lulwo, era obulamu bwange busobole okuwonawo.”+
-