-
Eby’Abaleevi 22:18-20Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
18 “Gamba Alooni ne batabani be n’Abayisirayiri bonna nti, ‘Omusajja Omuyisirayiri oba omugwira abeera mu Isirayiri, bw’anaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa+ eri Yakuwa okutuukiriza bye yeeyama oba okuwaayo ekiweebwayo ekya kyeyagalire,+ 19 anaaleetanga ente ennume ennamu obulungi,+ endiga ennume, oba embuzi ento ennume, okusobola okusiimibwa. 20 Temuwangayo kintu kyonna ekiriko obulemu,+ kubanga tekijja kubaleetera kusiimibwa.
-
-
Ekyamateeka 17:1Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
17 “Towangayo eri Yakuwa Katonda wo ssaddaaka ey’ente oba ey’endiga eriko obulemu oba ekikyamu kyonna, kubanga ekyo kya muzizo eri Yakuwa Katonda wo.+
-