-
Eby’Abaleevi 24:2, 3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 “Lagira Abayisirayiri bakuleetere amafuta amalongoofu ag’ezzeyituuni ag’okussa mu ttaala, kizisobozese okwakanga buli kiseera.+ 3 Buli kawungeezi, Alooni anaakoleezanga ettaala era n’akakasa nti zisigala zaakira mu maaso ga Yakuwa okutuusa ku makya, mu weema ey’okusisinkaniramu, mu maaso g’olutimbe oluli okumpi n’essanduuko y’endagaano. Eryo tteeka lya lubeerera mu mirembe gyammwe gyonna.
-
-
Okubala 8:2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 “Gamba Alooni nti, ‘Bw’onookoleezanga ettaala omusanvu eziri ku kikondo ky’ettaala, ettaala ezo zinaamulisanga ekifo ekiri mu maaso g’ekikondo ky’ettaala.’”+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Era bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Yakuwa buli ku makya na buli kawungeezi,+ era banyookeza n’obubaani obw’akaloosa;+ n’emigaati egipangibwa*+ giri ku mmeeza eya zzaabu omulongoofu, era bakoleeza ekikondo ky’ettaala ekya zzaabu+ n’ettaala zaakyo buli kawungeezi,+ kubanga tutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe eri Yakuwa Katonda waffe, naye mmwe mwamuvaako.
-