-
Eby’Abaleevi 11:24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 Ebyo bijja kubafuulanga abatali balongoofu. Buli anaabikwatangako nga bifudde taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+
-
-
Eby’Abaleevi 22:4, 5Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Omuntu yenna ow’omu zzadde lya Alooni anaabanga n’ebigenge+ oba endwadde emuleetera okuvaamu amazzi mu bitundu bye eby’ekyama,+ talyanga ku bintu ebitukuvu okutuusa lw’anaabanga omulongoofu,+ k’abe oyo anaakwatanga ku muntu anaabanga afuuse atali mulongoofu olw’omuntu afudde,+ oba anaabanga avuddemu amazzi g’ekisajja,+ 5 oba anaabanga akutte ku kiramu ekibeera mu bibinja ekitali kirongoofu,+ oba anaabanga akutte ku muntu eyafuuka atali mulongoofu olw’ensonga yonna, era ayinza okumufuula atali mulongoofu.+
-