-
Eby’Abaleevi 11:23, 24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
23 Ebiramu ebirala byonna ebibeera mu bibinja ebirina ebiwaawaatiro era ebirina amagulu ana bijja kuba bya muzizo gye muli. 24 Ebyo bijja kubafuulanga abatali balongoofu. Buli anaabikwatangako nga bifudde taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.+
-
-
Okubala 19:11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Buli anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu yenna anaamalanga ennaku musanvu+ nga si mulongoofu.
-
-
Okubala 19:16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 Buli muntu anaabanga ku ttale n’akwata ku muntu attiddwa n’ekitala oba ku mulambo oba ku ggumba ly’omuntu oba ku malaalo, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu.+
-