-
Okubala 18:24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 Ekimu eky’ekkumi Abayisirayiri kye banaawangayo eri Yakuwa nkiwadde Abaleevi okuba obusika. Kyenvudde mbagamba nti, ‘Tebalina kufuna busika mu Bayisirayiri.’”+
-
-
Ekyamateeka 10:9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 Eyo ye nsonga lwaki Leevi teyaweebwa mugabo wadde obusika mu baganda be. Yakuwa bwe busika bwe, nga Yakuwa Katonda wo bwe yamugamba.+
-