-
Eby’Abaleevi 1:2, 3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 “Yogera n’Abayisirayiri* obagambe nti, ‘Omuntu yenna mu mmwe bw’anaabanga ow’okuwaayo ekiweebwayo eri Yakuwa okuva mu bisolo eby’awaka, anaawangayo ekiweebwayo kye okuva mu nte oba mu ndiga n’embuzi.+
3 “‘Ekiweebwayo kye bwe kibanga ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente, anaawangayo ente ennume ennamu obulungi.+ Anaagiwangayo kyeyagalire+ mu maaso ga Yakuwa ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.
-