-
1 Ebyomumirembe Ekisooka 5:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 Bano be baana ba Lewubeeni+ omwana wa Isirayiri omubereberye. Ye yali omwana omubereberye, naye olw’okuba yaweebuula ekitanda kya kitaawe,+ omugabo gwe ogw’omwana omubereberye gwaweebwa baana ba Yusufu+ mutabani wa Isirayiri, bw’atyo n’aba nga teyawandiikibwa ng’omwana omubereberye mu nnyiriri z’obuzaale. 2 Wadde nga Yuda+ yali mukulu okusinga baganda be, era nga mu ye mwe mwava ow’okuba omukulembeze,+ omugabo ogw’omwana omubereberye gwali gwa Yusufu.
-