-
Olubereberye 48:19, 20Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
19 Naye kitaawe n’agaana, ng’agamba nti: “Nkimanyi mwana wange, nkimanyi. Naye alifuuka ekibiina ky’abantu, era naye aliba mukulu. Kyokka muto we alimusinga obukulu.+ Era abaana be baliba bangi nnyo nga basobola okuvaamu amawanga.”+ 20 N’ayongera n’abawa omukisa ku lunaku olwo+ ng’agamba nti:
“Abayisirayiri ka bakozesenga erinnya lyo okusabiragana omukisa nga bagamba nti,
‘Katonda akufuule nga Efulayimu ne Manase.’”
Bw’atyo n’akulembeza Efulayimu mu kifo kya Manase.
-