-
Okuva 12:15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse+ okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olusooka munaggyanga ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe, kubanga omuntu yenna anaalyanga ekintu ekirimu ekizimbulukusa okuva ku lunaku olusooka okutuuka ku lunaku olw’omusanvu, anattibwanga n’aggibwa mu Isirayiri.
-