-
Ekyamateeka 12:5, 6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 Naye munoonyanga Yakuwa Katonda wammwe yonna gy’anaalonda okuteeka erinnya lye era n’ekifo w’anaabeeranga mu bika byammwe byonna, era eyo gye munaagendanga.+ 6 Eyo gye munaatwalanga ebiweebwayo byammwe ebyokebwa,+ ne ssaddaaka zammwe, n’ekimu kyammwe eky’ekkumi,+ ne bye muwaayo okuva mu mukono gwammwe,+ n’ebiweebwayo byammwe eby’obweyamo, n’ebiweebwayo byammwe ebya kyeyagalire,+ n’ebibereberye by’amagana gammwe, n’eby’ebisibo byammwe.+
-
-
Ekyamateeka 14:22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
22 “Tolemanga kuwaayo ekimu eky’ekkumi eky’emmere yonna eva mu nsigo z’osiga mu nnimiro buli mwaka.+
-