-
Ekyamateeka 11:26-28Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
26 “Laba, leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n’okukolimirwa:+ 27 munaabanga n’omukisa bwe munaagonderanga ebiragiro bya Yakuwa Katonda wammwe bye mbawa leero;+ 28 munaakolimirwanga bwe mutaagonderenga biragiro bya Yakuwa Katonda wammwe+ ne mukyuka okuva mu kkubo lye mbalagira leero okutambuliramu ne mugoberera bakatonda abalala be mutamanyi.
-