-
1 Bassekabaka 1:39, 40Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
39 Zadooki kabona n’aggya ejjembe ly’amafuta+ mu weema+ n’afuka amafuta ku Sulemaani,+ ne bafuuwa eŋŋombe, abantu bonna ne baleekaana nga bagamba nti: “Kabaka Sulemaani awangaale!” 40 Awo abantu bonna ne bamugoberera ne bambuka nga bafuuwa endere era nga bajaganya nnyo. Baali baleekaana nnyo, ne kiba nti ensi yatuuka n’okukankana.+
-
-
1 Ebyomumirembe Ekisooka 12:39, 40Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
39 Baabeera eyo ne Dawudi okumala ennaku ssatu, nga balya era nga banywa, kubanga baganda baabwe baali babategekedde. 40 Era n’abo abaali okumpi, awamu n’abo abaali ewala mu kitundu kya Isakaali n’ekya Zebbulooni n’ekya Nafutaali, baaleetera eby’okulya bino ku ndogoyi ne ku ŋŋamira ne ku nnyumbu ne ku nte: eby’okulya ebikoleddwa mu buwunga, ebitole by’ettiini, ebitole by’ezzabbibu enkalu, omwenge, amafuta g’omuzeyituuni, n’ente n’endiga, nga bingi nnyo, kubanga waaliwo okusanyuka mu Isirayiri.
-