-
1 Ebyomumirembe Ekisooka 21:24-28Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 Kyokka Kabaka Dawudi n’agamba Olunaani nti: “Nedda, nja kubigula ssente ezibigyaamu, kubanga sijja kutwala bibyo mbiwe Yakuwa oba mbiweeyo nga ssaddaaka ezookebwa nga sirina kye nsasudde.”+ 25 Awo Dawudi n’awa Olunaani sekeri* za zzaabu 600 okusasulira ekifo. 26 Dawudi n’azimbira Yakuwa ekyoto+ mu kifo ekyo, era n’awaayo ssaddaaka ezookebwa ne ssaddaaka ez’emirembe, n’akoowoola Yakuwa, era n’amuddamu ng’asindika omuliro+ okuva mu ggulu ne gukka ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. 27 Awo Yakuwa n’alagira malayika+ okuzza ekitala kye mu kiraato kyakyo. 28 Dawudi bwe yalaba nga Yakuwa amuzzeemu ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, Dawudi ne yeeyongera okuweeranga eyo ssaddaaka.
-