-
Ekyamateeka 32:39Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
Nzita era mpa obulamu.+
-
-
2 Bassekabaka 4:32Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
32 Erisa bwe yayingira mu nnyumba, n’alaba omwana eyali afudde ng’agalamiziddwa ku kitanda kye.+
-
-
2 Bassekabaka 4:34Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
34 N’agenda ku kitanda n’agalamira ku mwana, n’ateeka akamwa ke ku kamwa k’omwana, n’amaaso ge ku maaso g’omwana, n’ebibatu bye ku bibatu by’omwana. Yasigala agalamidde ku mwana okutuusa omubiri gw’omwana lwe gwatandika okubuguma.+
-
-
Yokaana 11:44Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
44 Omusajja eyali afudde n’afuluma ng’ebigere bye n’emikono gye bizingiddwako engoye era ng’asibiddwa ekitambaala ku maaso. Yesu n’abagamba nti: “Mumusumulule, mumuleke agende.”
-
-
Ebikolwa 20:9, 10Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 Pawulo bwe yali ayogera, omuvubuka ayitibwa Yutuko eyali atudde mu ddirisa n’akwatibwa otulo tungi ne yeebaka, n’awanuka ku kkalina ey’okusatu n’agwa wansi, ne bamuggyawo ng’afudde. 10 Naye Pawulo n’akka wansi, n’amugwako n’amuwambatira+ n’agamba nti: “Mulekere awo okukuba ebiwoobe, kubanga mulamu.”+
-
-
Abaruumi 14:9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 Olw’ensonga eyo, Kristo yafa era n’azuukira, alyoke abeere Mukama w’abafu n’abalamu.+
-