-
1 Bassekabaka 17:24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 Awo omukazi n’agamba Eriya nti: “Kaakano ntegeeredde ddala nti oli musajja wa Katonda+ era nti ekigambo kya Yakuwa ky’oyogedde kya mazima.”
-
-
2 Bassekabaka 3:11, 12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Yekosafaati n’abuuza nti: “Wano tewali nnabbi wa Yakuwa gwe tuyinza kuyitiramu okwebuuza ku Yakuwa?”+ Awo omu ku baweereza ba kabaka wa Isirayiri n’agamba nti: “Eriyo Erisa+ mutabani wa Safati, eyafukiriranga Eriya amazzi ng’anaaba mu ngalo.”*+ 12 Yekosafaati n’agamba nti: “Yakuwa ayogera ng’ayitira mu oyo.” Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati ne kabaka wa Edomu ne bagenda gye yali.
-
-
2 Bassekabaka 8:4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Mu kiseera ekyo, kabaka yali ayogera ne Gekazi omuweereza w’omusajja wa Katonda ow’amazima ng’amugamba nti: “Mbuulira ebintu byonna eby’ekitalo Erisa by’akoze.”+
-