-
Yeremiya 32:4, 5Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 era Kabaka Zeddeekiya owa Yuda tajja kusimattuka Bakaludaaya, kubanga ajja kuweebwayo mu mukono gwa kabaka wa Babulooni, era ajja kwogera naye maaso ku maaso.”’+ 5 ‘Ajja kutwala Zeddeekiya e Babulooni abeere eyo okutuusa lwe ndisalawo eky’okumukolera,’ Yakuwa bw’agamba. ‘Wadde mulwanyisa Abakaludaaya, temujja kuwangula.’”+
-
-
Ezeekyeri 12:12, 13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Omwami ali mu bo ajja kusitulira ebintu bye ku kibegaabega agendere mu nzikiza. Ajja kukuba ekituli mu kisenge ayiseemu ebintu bye.+ Era ajja kwebikka mu maaso aleme kulaba wansi.’ 13 Nja kumusuulako ekitimba kyange, era kijja kumukwasa.+ Nja kumutwala e Babulooni mu nsi y’Abakaludaaya, naye tajja kukiraba; era eyo gy’ajja okufiira.+
-