-
Yeremiya 52:12-14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Mu mwezi ogw’okutaano, ku lunaku olw’ekkumi, nga gwe gwali omwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obufuzi bwa Kabaka Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni, Nebuzaladaani eyali akulira abakuumi, era eyali omuweereza wa kabaka wa Babulooni, yagenda e Yerusaalemi.+ 13 Yayokya ennyumba ya Yakuwa,+ n’ennyumba ya* kabaka, n’amayumba gonna ag’omu Yerusaalemi; buli nnyumba ennene yagyokya omuliro. 14 Ate era eggye ly’Abakaludaaya lyonna eryali n’omukulu w’abakuumi lyamenya bbugwe wa Yerusaalemi.+
-
-
Okukungubaga 4:12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Bakabaka b’ensi n’abantu bonna ababeera mu nsi baali tebakikkiriza
Nti omulabe n’oyo abawalana bayinza okuyingira mu miryango gya Yerusaalemi.+
-