-
1 Bassekabaka 8:14-21Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
14 Awo kabaka n’akyuka n’asabira ekibiina kyonna ekya Isirayiri omukisa, ng’ekibiina kyonna kiyimiridde.+ 15 N’agamba nti: “Atenderezebwe Yakuwa Katonda wa Isirayiri eyasuubiza Dawudi kitange n’akamwa ke, era mu buyinza bwe atuukirizza kye yasuubiza ng’agamba nti, 16 ‘Okuva ku lunaku lwe nnaggya abantu bange mu nsi ya Misiri, sirondanga kibuga kyonna mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe baba bazimbira erinnya lyange ennyumba libeere omwo,+ naye nnonze Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’ 17 Ate era Dawudi kitange yakyagala nnyo mu mutima gwe okuzimba ennyumba ey’erinnya lya Yakuwa Katonda wa Isirayiri.+ 18 Naye Yakuwa n’agamba Dawudi kitange nti, ‘Oyagala nnyo mu mutima gwo okuzimbira erinnya lyange ennyumba, era okoze bulungi okwagala ekintu kino mu mutima gwo. 19 Naye si ggwe ojja okuzimba ennyumba eyo, wabula omwana wo anaakuzaalirwa* y’ajja okuzimbira erinnya lyange ennyumba.’+ 20 Yakuwa yatuukiriza kye yasuubiza, kubanga nnasikira Dawudi kitange era ntudde ku ntebe y’obwakabaka bwa Isirayiri nga Yakuwa bwe yasuubiza. Ate era nzimbye ennyumba ey’erinnya lya Yakuwa Katonda wa Isirayiri,+ 21 era ntaddemu ekifo ky’Essanduuko erimu endagaano+ Yakuwa gye yakola ne bajjajjaffe ng’abaggya mu nsi ya Misiri.”
-