4 Yakuwa ajja kutuukiriza kye yansuubiza ng’agamba nti: ‘Singa abaana bo baneegenderezanga ekkubo lyabwe ne batambulira mu bwesigwa mu maaso gange n’omutima gwabwe gwonna, n’obulamu bwabwe bwonna,+ tewaalemenga kubaawo musajja wa mu lunyiriri lwo atuula ku ntebe y’obwakabaka bwa Isirayiri.’+