3 Awo Samwiri n’agamba ennyumba ya Isirayiri yonna nti: “Bwe muba nga mukomawo eri Yakuwa n’omutima gwammwe gwonna,+ muggye mu mmwe bakatonda abalala+ n’ebifaananyi bya Asutoleesi,+ mumalire emitima gyammwe ku Yakuwa era muweereze ye yekka,+ naye ajja kubanunula mu mukono gw’Abafirisuuti.”+