-
1 Ebyomumirembe Ekisooka 22:1Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
22 Awo Dawudi n’agamba nti: “Wano we wanaabeera ennyumba ya Yakuwa Katonda ow’amazima, era wano we wanaabeera ekyoto kya Isirayiri eky’ebiweebwayo ebyokebwa.”+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:8, 9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 Asa olwawulira ebigambo ebyo n’obunnabbi bwa nnabbi Odedi, n’afuna obuvumu n’aggyawo ebifaananyi ebyenyinyaza ebyali mu nsi yonna eya Yuda+ ne Benyamini ne mu bibuga bye yali awambye mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi, era n’azzaawo ekyoto kya Yakuwa ekyali mu maaso g’ekisasi ky’ennyumba ya Yakuwa.+ 9 N’akuŋŋaanya Yuda yonna ne Benyamini n’abagwira bonna abaali mu bo abaava mu Efulayimu ne Manase ne Simiyoni,+ kubanga bangi nnyo baali bavudde mu Isirayiri ne bamwegattako, bwe baalaba nga Yakuwa Katonda we ali naye.
-