-
Okuva 29:38Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
38 “Bino by’onoowangayo ku kyoto: endiga bbiri ennume, nga buli emu ya mwaka gumu, buli lunaku obutayosa.+
-
-
Okubala 29:12, 13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 “‘Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu mujja kubanga n’olukuŋŋaana olutukuvu. Temukolanga mulimu gwa maanyi gwonna, era mujja kukwatanga embaga ya Yakuwa okumala ennaku musanvu.+ 13 Era munaawangayo ekiweebwayo kino ekyokebwa,+ ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa: ente ento ennume 13, endiga ennume 2, n’endiga ento ennume 14 nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi.+
-