-
Ezera 1:2, 3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 “Bw’ati Kabaka Kuulo owa Buperusi bw’agamba, ‘Yakuwa Katonda w’eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw’omu nsi+ era annonze okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi+ ekiri mu Yuda. 3 Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Katonda we abeere naye, agende e Yerusaalemi ekiri mu Yuda azzeewo ennyumba ya Yakuwa Katonda wa Isirayiri, (ye Katonda ow’amazima) ennyumba ye eyali mu Yerusaalemi.*
-
-
Ezera 6:3, 4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 “Mu mwaka ogwasooka ogw’obufuzi bwa Kabaka Kuulo, Kabaka Kuulo yawa ekiragiro ekikwata ku nnyumba ya Katonda eyali mu Yerusaalemi:+ ‘Ennyumba eddemu ezimbibwe ebeere ekifo mwe baweerayo ssaddaaka, era emisingi gyayo gizimbibwe; obugulumivu ejja kuba emikono 60* n’obugazi emikono 60,+ 4 ebisenge byayo bijja kuba n’embu ssatu ez’amayinja amanene era n’olubu lumu olw’embaawo;+ ssente ez’okusasulira ebintu ebyo mujja kuziggya mu ggwanika lya kabaka.+
-