-
Eseza 3:13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Awo amabaluwa ne gaweebwa ababaka ne bagatwala mu masaza ga kabaka gonna, nga galagira okusaanyaawo, n’okutta, n’okuzikiriza Abayudaaya bonna, abavubuka n’abakadde, abato n’abakazi, ku lunaku lumu, ku lunaku olw’ekkumi n’essatu olw’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri, omwezi gwa Adali,+ era n’okunyaga ebintu byabwe.+
-
-
Eseza 9:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 Mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, omwezi gwa Adali,*+ ku lunaku olw’ekkumi n’essatu, ekigambo kya kabaka n’etteeka lye bwe byatuuka okussibwa mu nkola,+ ku lunaku abalabe b’Abayudaaya lwe baali balindiridde okubakajjalako, ebintu byakyuka, Abayudaaya ne bawangula abo abaali batabaagala.+ 2 Abayudaaya baakuŋŋaana wamu mu bibuga byabwe mu masaza gonna aga Kabaka Akaswero+ okulwanyisa abo abaali baagala okubakolako akabi, era tewali muntu yasobola kubaŋŋanga kubanga abantu bonna baali bagwiriddwa entiisa y’Abayudaaya.+
-
-
Eseza 9:16, 17Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 Abayudaaya abalala abaali mu masaza ga kabaka nabo baakuŋŋaana wamu ne beerwanako.+ Baasaanyaawo abalabe baabwe,+ ne batta abantu 75,000 abaali batabaagala; naye tebaanyaga kintu kyonna. 17 Ebyo byaliwo ku lunaku olw’ekkumi n’essatu olw’omwezi gwa Adali, ku lunaku olw’ekkumi n’ennya ne bawummula, ne balufuula olunaku olw’okuliirako ebijjulo n’okusanyukirako.
-