-
Okubala 11:11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Awo Musa n’agamba Yakuwa nti: “Lwaki obonyaabonya omuweereza wo? Lwaki nfuuse atasiimibwa mu maaso go, n’ontikka omugugu gw’abantu bano bonna?+
-
-
Okubala 11:15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Oba nga bw’oti bw’ompisa, nkwegayiridde nzita kati.+ Bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, tondeka kweyongera kulaba kabi.”
-
-
1 Bassekabaka 19:3, 4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 Eriya n’atya nnyo, n’asituka n’adduka awonye obulamu bwe.+ N’atuuka e Beeru-seba+ ekya Yuda,+ n’aleka eyo omuweereza we. 4 N’atambula olugendo lwa lunaku lumu mu ddungu, n’agenda n’atuula wansi w’akati, n’asaba afe. N’agamba nti: “Kimala! Kaakano Ai Yakuwa, ggyawo obulamu bwange,+ kubanga sisinga bajjajjange.”
-