-
Yobu 34:11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Kubanga ajja kusasula omuntu okusinziira ku bikolwa bye,+
Era ajja kumuleka atuukibweko ebiva mu makubo ge.
-
-
Engero 24:12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
Mazima ddala, oyo akulaba ajja kukitegeera
Era ajja kusasula buli muntu okusinziira ku bikolwa bye.+
-
-
Abaruumi 2:6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Era alisasula buli omu ng’asinziira ku bikolwa bye:+
-
-
Okubikkulirwa 20:12, 13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Ate era ne ndaba abafu, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa, nga bayimiridde mu maaso g’entebe y’obwakabaka, emizingo ne gyanjuluzibwa. N’omuzingo omulala ne gwanjuluzibwa; gwe muzingo ogw’obulamu.+ Abafu ne balamulwa okusinziira ku ebyo ebyawandiikibwa mu mizingo ng’ebikolwa byabwe bwe byali.+ 13 Ennyanja n’ereeta abafu abagirimu, n’okufa n’amagombe* ne bireeta abafu ababirimu, ne balamulwa kinnoomu okusinziira ku bikolwa byabwe.+
-
-
Okubikkulirwa 22:12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 “‘Laba! Nzija mangu. Buli omu nja kumuwa empeera okusinziira ku mulimu gwe.+
-