-
Ekyamateeka 6:10, 11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 “Era Yakuwa Katonda wo bw’alikutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo okugikuwa,+ ensi omuli ebibuga ebinene era ebirabika obulungi by’otaazimba,+ 11 n’ennyumba ezijjude ebintu ebirungi ebya buli ngeri by’otaakolerera, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeyituuni gy’otaasimba, n’olya n’okutta,+
-
-
Yoswa 5:11, 12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Ne balya ku birime by’ensi ku lunaku olwaddirira embaga ey’Okuyitako. Ku lunaku olwo, baalya emigaati egitali mizimbulukuse+ n’emmere ey’empeke ensiike. 12 Awo emmaanu n’erekera awo okulabika ku lunaku olwaddirira, olunaku lwe baalya ku birime by’omu nsi eyo; Abayisirayiri tebaddamu kufuna mmaanu,+ era baatandika okulya ebimu ku birime by’omu nsi ya Kanani mu mwaka ogwo.+
-