-
1 Samwiri 16:6, 7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Bwe baali bayingira, n’alaba Eriyaabu,+ n’agamba nti: “Mazima ddala ono Yakuwa gw’alonze.”* 7 Naye Yakuwa n’agamba Samwiri nti: “Totunuulira ndabika ye na buwanvu bwe,+ kubanga si gwe nnonze. Kubanga engeri abantu gye balabamu ebintu Katonda si bw’abiraba; abantu balaba ekyo amaaso gaabwe kye gasobola okulaba, naye Yakuwa alaba ekiri mu mutima.”+
-
-
Engero 24:12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
Mazima ddala, oyo akulaba ajja kukitegeera
Era ajja kusasula buli muntu okusinziira ku bikolwa bye.+
-