-
Okubala 25:6-8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Awo mu kiseera ekyo omu ku Bayisirayiri n’aleeta mu baganda be omukazi Omumidiyaani+ nga Musa n’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri balaba, bwe baali nga bakaabira ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu. 7 Fenekaasi+ mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona bwe yakiraba, amangu ago n’asituka n’ava mu kibiina n’akwata effumu mu mukono gwe, 8 n’agoberera omusajja Omuyisirayiri mu weema, n’abafumita bombi, omusajja Omuyisirayiri, n’omukazi mu bitundu bye eby’ekyama. Awo ekirwadde ekyali kibaluseewo mu Bayisirayiri ne kikomezebwa.+
-
-
1 Samwiri 15:22, 23Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
22 Awo Samwiri n’agamba nti: “Yakuwa asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka+ nga bw’asanyukira okugondera eddoboozi lya Yakuwa? Okuba omuwulize kisinga ssaddaaka,+ n’okussaayo omwoyo kisinga amasavu+ g’endiga ennume; 23 kubanga obujeemu+ bwenkanankana n’ekibi eky’obulaguzi,+ n’okwetulinkiriza kwenkanankana n’okukozesa eddogo era n’okusinza ebifaananyi.* Nga bw’ojeemedde ekigambo kya Yakuwa,+ naye akuggyeeko obwakabaka.”+
-