-
2 Bassekabaka 5:20-22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 Gekazi+ omuweereza wa Erisa omusajja wa Katonda ow’amazima+ n’agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange alese Naamani ono Omusuuli+ okugenda nga tamuggyeeko by’aleese. Nga Yakuwa bw’ali omulamu, nja kudduka mmugoberere mbeeko kye mmuggyako.’ 21 Gekazi n’adduka n’agoberera Naamani. Naamani bwe yalaba omuntu amugoberera, n’ava mu ggaali lye okumusisinkana n’amubuuza nti: “Waliwo omutawaana gwonna?” 22 N’amuddamu nti: “Tewali mutawaana. Mukama wange antumye nkugambe nti, ‘Abavubuka babiri ku baana ba bannabbi bazze gye ndi nga bava mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi. Nkusaba obawe ttalanta emu eya ffeeza n’ebyambalo bibiri.’”+
-
-
Yeremiya 17:11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
Birimuggwaako oluvannyuma lw’ekiseera,
Era ku nkomerero kiryeyoleka nti musirusiru.”
-