-
1 Samwiri 2:22-25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
22 Eli yali akaddiye nnyo, naye yali awulidde ebyo byonna batabani be bye baakolanga+ Abayisirayiri bonna, era ne bwe beegattanga n’abakazi abaaweererezanga ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.+ 23 Yabagambanga nti: “Lwaki mukola ebintu ng’ebyo? Ebintu bye mpulira abantu bonna bye baboogerako bibi. 24 Nedda baana bange, ebyo bye mpulira, ebiboogerwako mu bantu ba Yakuwa si birungi. 25 Omuntu bw’akola munne ekibi, omuntu omulala ayinza okwegayirira Yakuwa ku lulwe;* naye omuntu bw’ayonoona mu maaso ga Yakuwa,+ ani ayinza okumusabira?” Naye tebaawuliriza kitaabwe, era Yakuwa yali amaliridde okubatta.+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:15, 16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe yabalabulanga ng’ayitira mu babaka be, yabalabula enfunda n’enfunda, kubanga yali asaasira abantu be n’ekifo kye ky’abeeramu. 16 Naye baajereganga ababaka ba Katonda ow’amazima+ ne banyooma ebigambo bye+ era ne basekerera ne bannabbi be,+ okutuusa obusungu bwa Yakuwa lwe bwabuubuukira abantu be,+ okutuusa lwe kyali nti waali tewakyali ssuubi lyonna lya kubawonya.
-