Okuva 6:1 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 6 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Kaakano ojja kulaba kye nnaakola Falaawo.+ Omukono ogw’amaanyi gujja kumuwaliriza okubaleka bagende, era omukono ogw’amaanyi gujja kumuwaliriza okubagoba mu nsi ye.”+ Okuva 6:6 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 6 “N’olwekyo gamba Abayisirayiri nti: ‘Nze Yakuwa; nja kubatikkula emigugu gy’Abamisiri, era mbanunule mulekere awo okuba abaddu baabwe;+ nja kubanunula n’omukono ogugoloddwa* era mbonereze nnyo Abamisiri.+ Okuva 15:16 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 16 Bajja kufuna ekyekango n’entiisa.+ Olw’omukono gwo ogw’amaanyi bajja kusigala mu kifo kimu ng’ejjinja,Okutuusa abantu bo lwe banaayitawo, Ai Yakuwa. Okutuusa abantu bo be watonda+ lwe banaayitawo.+
6 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Kaakano ojja kulaba kye nnaakola Falaawo.+ Omukono ogw’amaanyi gujja kumuwaliriza okubaleka bagende, era omukono ogw’amaanyi gujja kumuwaliriza okubagoba mu nsi ye.”+
6 “N’olwekyo gamba Abayisirayiri nti: ‘Nze Yakuwa; nja kubatikkula emigugu gy’Abamisiri, era mbanunule mulekere awo okuba abaddu baabwe;+ nja kubanunula n’omukono ogugoloddwa* era mbonereze nnyo Abamisiri.+
16 Bajja kufuna ekyekango n’entiisa.+ Olw’omukono gwo ogw’amaanyi bajja kusigala mu kifo kimu ng’ejjinja,Okutuusa abantu bo lwe banaayitawo, Ai Yakuwa. Okutuusa abantu bo be watonda+ lwe banaayitawo.+