-
Ekyamateeka 16:14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
14 Onoosanyukanga mu kiseera ky’embaga yo,+ ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n’omuddu wo omusajja n’omuddu wo omukazi n’Omuleevi n’omugwira n’omwana atalina kitaawe ne nnamwandu, abali mu bibuga byo.
-
-
Zabbuli 42:4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Bwe nzijukira ebintu bino, muli mpulira nga nsaanuuka nzigwaawo:
Nnatambulanga n’ekibiina;
Nnatambulanga mpolampola nga mbakulembeddemu okugenda mu nnyumba ya Katonda,
Nga twogerera waggulu n’amaloboozi ag’essanyu era ag’okwebaza
Ng’ag’ekibiina ky’abantu abali ku mbaga.+
-
-
Yeremiya 33:10, 11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba: ‘Mu kifo kino kye mulyogerako nti kyafuuka matongo, omutali muntu wadde ensolo, mu bibuga bya Yuda ne ku nguudo za Yerusaalemi ebyafuuka amatongo, omutali muntu wadde abakibeeramu wadde ensolo, nate muliwulirwamu 11 amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza,+ n’amaloboozi g’omugole omusajja n’omugole omukazi, n’amaloboozi g’abantu abagamba nti: “Mwebaze Yakuwa ow’eggye, kubanga Yakuwa mulungi;+ okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe!”’+
“‘Balireeta ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Yakuwa,+ kubanga ndikomyawo abaawambibwa mu nsi, nga bwe nnakola mu kusooka,’ Yakuwa bw’agamba.”
-