Yeremiya
21 Ekigambo okuva eri Yakuwa kyajjira Yeremiya, Kabaka Zeddeekiya+ bwe yamutumira Pasukuli+ mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya+ kabona mutabani wa Maaseya, ng’amugamba nti: 2 “Nkwegayiridde, weebuuze ku Yakuwa ku lwaffe, kubanga Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni atulwanyisa.+ Oboolyawo Yakuwa anaatukolera ekimu ku bikolwa bye eby’ekitalo, Nebukadduneeza n’atuvaako.”+
3 Yeremiya n’abagamba nti: “Zeddeekiya mumugambe nti, 4 ‘Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: “Eby’okulwanyisa ebiri mu mukono gwo by’okozesa okulwanyisa kabaka wa Babulooni+ n’Abakaludaaya abakuzingizza ebweru wa bbugwe ŋŋenda kubikwolekeza. Nja kubikuŋŋaanyiza wakati mu kibuga kino. 5 Nze kennyini nja kukulwanyisa+ n’omukono ogw’amaanyi era ogugoloddwa nga ndiko obusungu bungi n’ekiruyi.+ 6 Nja kutta abantu ababeera mu kibuga kino, abantu n’ebisolo. Bajja kufa endwadde ey’amaanyi.”’+
7 “‘“Oluvannyuma lw’ekyo,” Yakuwa bw’agamba, “Kabaka Zeddeekiya owa Yuda n’abaweereza be n’abantu b’omu kibuga kino, abataafe ndwadde, ekitala, n’enjala, nja kubawaayo mu mukono gwa Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni, ne mu mukono gw’abalabe baabwe, ne mu mukono gw’abo abaagala okubatta.+ Ajja kubatta n’ekitala. Tajja kubakwatirwa kisa wadde okubasaasira wadde okubalumirirwa.”’+
8 “Ate era abantu bano bagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Laba, nteeka mu maaso gammwe ekkubo ery’obulamu n’ekkubo ery’okufa. 9 Abo abanaasigala mu kibuga kino bajja kufa ekitala, enjala, n’endwadde. Naye buli anaafuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza ajja kusigala nga mulamu, era obulamu bwe bwe bujja okuba omunyago gwe.”’+
10 “‘“Ekibuga kino nkyesambye, era kijja kutuukibwako bibi so si birungi,”+ Yakuwa bw’agamba. “Kijja kuweebwayo mu mukono gwa kabaka wa Babulooni,+ era ajja kukyokya omuliro.”+
11 “‘Eri ab’omu nnyumba ya kabaka wa Yuda: Muwulire ekigambo kya Yakuwa. 12 Mmwe ab’ennyumba ya Dawudi, bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Mukolenga eby’obwenkanya buli ku makya,
Era mununule anyagiddwa mu mukono gw’omunyazi,+
Obusungu bwange buleme okubuubuuka ng’omuliro+
Ne bwaka nga tewali abuzikiza
Olw’ebikolwa byammwe ebibi.”’+
13 ‘Nja kukulwanyisa ggwe abeera mu kiwonvu,
Mmwe abantu ababeera mu kibuga ekiri ku lwazi mu nsi ey’omuseetwe,’ Yakuwa bw’agamba.
‘Mmwe abagamba nti: “Ani anajja okututabaala, era ani anaalumba ebifo gye tubeera?”
‘Era nja kukoleeza omuliro ku kibira kye,
Gwokye ebintu byonna ebimwetoolodde.’”+