-
Eby’Abaleevi 20:3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 Nja kwolekeza omuntu oyo obwenyi bwange era nja kumusaanyaawo, kubanga anaaba awaddeyo eri Moleki abamu ku baana be, ekifo kyange ekitukuvu+ n’akifuula ekitali kirongoofu, era n’avvoola erinnya lyange ettukuvu.
-
-
Yeremiya 19:5, 6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 Baazimba ebifo ebigulumivu eby’okusinzizaamu Bbaali, okwokya abaana baabwe mu muliro okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Bbaali,+ ekintu kye saalagira, kye soogerangako, era ekitayingirangako mu mutima gwange.”’*+
6 “‘“Kale laba! ennaku zijja,” Yakuwa bw’agamba, “ekifo kino lwe kiriba nga tekikyayitibwa Tofesi oba Ekiwonvu ky’Omwana wa Kinomu, wabula Ekiwonvu eky’Okuttiramu.+
-
-
Yeremiya 32:35Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
35 Ate era baazimba ebifo ebigulumivu eby’okusinzizaamu Bbaali mu Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu*+ okwokya* mu muliro batabani baabwe ne bawala baabwe okubawaayo eri Moleki;+ ekintu kye sibaragirangako+ era ekitayingirangako mu mutima gwange* kukola kintu ng’ekyo eky’omuzizo, ekyaleetera Yuda okwonoona.’
-