-
Okubala 13:26, 27Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
26 Bwe baakomawo ne bagenda eri Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri e Kadesi+ mu ddungu ly’e Palani. Ne bategeeza ekibiina kyonna bye baalaba era ne babalaga n’ebibala eby’omu nsi. 27 Ne bagamba Musa nti: “Twayingira mu nsi gye watutuma okugendamu, era mazima ddala ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki,+ era bino bye bibala byayo.+
-
-
Ekyamateeka 6:10, 11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 “Era Yakuwa Katonda wo bw’alikutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo okugikuwa,+ ensi omuli ebibuga ebinene era ebirabika obulungi by’otaazimba,+ 11 n’ennyumba ezijjude ebintu ebirungi ebya buli ngeri by’otaakolerera, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeyituuni gy’otaasimba, n’olya n’okutta,+
-
-
Ekyamateeka 8:7-9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Kubanga Yakuwa Katonda wo akutwala mu nsi ennungi,+ ensi erimu emigga, ensulo, n’enzizi z’amazzi agakulukutira mu nsenyi ne mu bitundu eby’ensozi, 8 ensi ey’eŋŋaano, ne ssayiri, n’emizabbibu, n’emitiini, n’enkomamawanga;+ ensi ey’amafuta g’ezzeyituuni n’omubisi gw’enjuki,+ 9 ensi omutajja kuba bbula lya mmere era mw’otojja kubaako ky’ojula; ensi erimu amayinja omuva ekyuma era n’ensozi mw’ojja okusima ekikomo.
-