-
Isaaya 39:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
39 Mu kiseera ekyo kabaka wa Babulooni, Merodaaki-baladani mutabani wa Baladani, yaweereza Keezeekiya amabaluwa n’ekirabo,+ olw’okuba yali awulidde nti Keezeekiya yali alwadde era n’awona.+ 2 Keezeekiya yayaniriza ababaka n’essanyu* era n’abalaga ennyumba omwali eby’obugagga bye+—ffeeza, zzaabu, amafuta ga basamu, amafuta amalala ag’omuwendo, eby’okulwanyisa bye byonna, n’ebintu byonna ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu na kimu mu nnyumba* ye ne mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.
-