-
Yeremiya 5:12, 13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
Tewali kabi kanaatutuukako;
Tetujja kulaba kitala wadde enjala.’+
13 Bannabbi bye boogera tebiriimu nsa,
Ekigambo kya Katonda tekiri mu bo.
Ka bafuuke ekitaliimu nsa ng’ebigambo byabwe bwe biri!”
-
-
Ezeekyeri 12:24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 Kubanga mu nnyumba ya Isirayiri+ temujja kuddamu kubaamu kwolesebwa kwa bulimba wadde okulagula okw’obulimba.
-
-
Ezeekyeri 13:9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 Nja kugolola omukono gwange mbonereze bannabbi abafuna okwolesebwa okw’obulimba era abalagula eby’obulimba.+ Tebajja kuba mu bantu be mbuulira ebyama byange; amannya gaabwe tegajja kuwandiikibwa mu kitabo ekiwandiikibwamu ab’ennyumba ya Isirayiri, era tebajja kukomawo mu nsi ya Isirayiri; mujja kumanya nti nze Yakuwa Mukama Afuga Byonna.+
-