-
1 Timoseewo 2:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 Okusookera ddala, nkubiriza bonna okwegayiriranga, okusabanga, okusabiranga abalala, n’okwebazanga, ku lw’abantu aba buli ngeri, 2 bakabaka, n’abo bonna abali mu bifo ebya waggulu,*+ tusobole okubeera mu bulamu obuteefu era obw’emirembe nga twemalira ku Katonda era nga tuba beegendereza mu buli kintu.+
-