-
Ezeekyeri 13:8, 9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 “‘Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “‘Olw’okuba mwogedde eby’obulimba era nga n’okwolesebwa kwammwe kwa bulimba, ndi mulabe wammwe,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”+ 9 Nja kugolola omukono gwange mbonereze bannabbi abafuna okwolesebwa okw’obulimba era abalagula eby’obulimba.+ Tebajja kuba mu bantu be mbuulira ebyama byange; amannya gaabwe tegajja kuwandiikibwa mu kitabo ekiwandiikibwamu ab’ennyumba ya Isirayiri, era tebajja kukomawo mu nsi ya Isirayiri; mujja kumanya nti nze Yakuwa Mukama Afuga Byonna.+
-