12 Bw’ati Yakuwa bw’agamba nti, “Kale kaakano mudde gye ndi n’omutima gwammwe gwonna,+
Nga musiiba,+ nga mukaaba, era nga mukuba ebiwoobe.
13 Muyuze emitima gyammwe+ so si byambalo byammwe,+
Mudde eri Yakuwa Katonda wammwe,
Kubanga wa kisa era musaasizi, alwawo okusunguwala+ era alina okwagala kungi okutajjulukuka,+
Era alyerowooza ku kabi k’ayagala okuleeta ku bantu be.
14 Ani amanyi obanga alireka obusungu bwe ne yeerowooza+
N’alekawo omukisa,
Ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa eby’okuwaayo eri Yakuwa Katonda wammwe?